Genius Omuzira (Brian Beats)
Singa tetwali bayimbi Twandibaddeki aaah aah nedda ?
Ye singa tetwali kyetwali twandibaddeki Aaah aah nedda
Nze mundeke njogere byendaba
Munanvumako kajanja
Bwendimal'okubyogera
Munkoleko kyemwagala
Aaah aah Juliana yandibadde teller mu bank
B2C nebabeera ba city biker
Omutujju nga muddusi wa misinde gya mpaka
Mesach nga y'omu ku bambowa ba Kabaka
Owa catering nga Catherine Kusaasira
Nakimera gwe osaana bwakumodola
Kenzo (o)labika nga ba footballer
Irene Ntale asaana bwa lecturer
Topic bwayingira saloon ogamba mwakola
Mary Bata sing'ebizigo y'atabula
Weasel ye muntu anyuma ovvuga trailer
Aziz Azion ate ye engineer
Atamanyi Ragga Dee yandimuyita omusurveyor
Chris Evans asaana bwa pastor
David Lutalo singa kati doctor
Mun-G annyumira avimbisa ba raster
Rema yandibadde TV presenter
Amawulire ku radio nga Nwagi yagatafuta
Singa tetwali bayimbi Twandibaddeki aaah aah nedda ?
Ye singa tetwali kyetwali twandibaddeki Aaah aah nedda
Nze mundeke njogere byendaba
Munanvumako kajanja
Bwendimal'okubyogera
Munkoleko kyemwagala
Kubizinga ssibula kasita mba ne Barbi Jay
Roden Y alabikamu nga ba DJ
Daxx Kartel bwaleekaana ogamba VJ
Neekanga ku mufuusa nga mmanyi Bafana
Victor Kamenyo mulabamu obwa designer
Ykee Benda alabika asobola art
Navio olabika nga ba tourist
Saha singa speaker mu parliament
Lutaaya ate gwe genda ku bwa mayor
Walukagga nkulabamu ekyama kya lawyer
Cinema zaalinyumye nga Pallaso y'azizannya
Muky'ensonga z'amaka Jamal Wasswa gwennonya
A Pass yandibaamu obwa producer
Hilderman alabika nga professor
Diana Nalubega muba nurse gyemmussa
N'omutimbi w'abagole Betinah Namukasa
Singa tetwali bayimbi Twandibaddeki aaah aah nedda?
Ye singa tetwali kyetwali twandibaddeki Aaah aah nedda
Nze mundeke njogere byendaba
Munanvumako kajanja
Bwendimal'okubyogera
Munkoleko kyemwagala
Uganda erinyuma nga President Bobi Wine
Omu kuba rich gang nga Chameleon
Maureen Nantume nga manager muzi company
Stecia Mayanja anyuma oyitibwa Auntie saloon
Bwontuma aba shaolin temple Don MC kwensookera
Senga w'ensonga Stabua gwentuukirira
Boutique bwebaawo Namubiru gwengitonera
Mu wrestling w'abakazi Anitah gyanyumira
Sheebah mbega omukugu akiyinamu n'eddaala
Mayinja n'abogezi b'okumikolo toyawula
Kiweewa yandinyumye nnyo nga ddiikuula
Nanonya kyempa Hajji Harunah Mubiru kyabula
Principal twandibadde na Spice Diana
Chef nga Pastor Bugembe gwetulina
Hassan Ndugga ba cowboy bamufaanana
N'olwekyo embalaasi baalivuzenga bonna
Bebe Cool ekiwago kye kyaba bouncer
Buli lwendaba Mukaabya nsigala mbuusabuusa!!
Ndabira ddala omusawo omuganda oli kakensa
Oba tampulidde??
Genius Omuzira
Paroles2Chansons dispose d’un accord de licence de paroles de chansons avec la Société des Editeurs et Auteurs de Musique (SEAM)